Bya Moses Kyeyune.
Ssabapolice we gwanga Martin Okoth Ochola ategeezeza nga police bweri muntekateeka ez’okuggala police ye Nalufenya,nga eno erudde nga eyogerwako nga ekifo omutulugunyizibwa abantu entakera.
Ono okwogera bino abadde alabiseeko mu kakiiko ka parliament akola ku by’okwerinda n’agamba nti mu kaseera kano banamateeka ba police bakyabaga ekiwandiiko ekigenda okugobererwa mukuggala ekifo kino.
Ochola okwasanguza bino kidiridde ababaka Muwanga Kivumbi ne Kezekia Mbogo okutegeeza nga Nalufenya bweyetaga okuggala kubanga kati kano kaafuka kattiro kenyinini , era nga katatanye ekifananyi kya police.