Bya Magembe Ssabiiti
Ssentebe w’eggombolola y’e Kitenga mu district y’e Mubende Gamba Edward akubiddwa mu kkooti e Mubende ng’ekimuzaalidde leenya kwekukwatibwa lubona ne mukomusajja mu loogi.
Kigongo Moses omutuuze w’e Budibaga muluka gw’e Kalonga e
Mubende y’akubye Ggamba Edward mu kkooti lwa kuganza mukyala we Kayesu Sarah gweyasigula, ng’agamba nti yamwanjula era n’awayo ebyabakadde omwali akasiimo ak’obukadde 4 nente era nebagattibwa mu kkanisa ya
SDA e Budibaga mu gwomunaana mwaka 2014.