Bya Ruth Anderah ne Ivan Ssenabulya
Abawaaba omusango oguwakanya ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga 5 bamalirizza enkubira yaabwe, ku musango ogugenda mu maaso e Mbale basabye, kooti ya ssemateeka esazeemu etteeka eryayisibwa palamenti omwaka oguwedde.
Banamateeka abekibiina kya Uganda Law Society, Male Mabirizi, nababaka 6 banokoddeyo ensonga 4 enkulu lwaki etteeka lino ffu eranga ligwana kusazibwamu.
Bagambye nti palamenti yayita weyalina okukoma nekyusa ssemateeka, nga teyebuizzza ku bantu, ebikolwa ebingi ebyamenya amateeka nensonga endala .
Elias Lukwago ne Male Mabirizi banokoddeyo enfunda amateeka ga palamenti agagobererwa lwegamenyebwa, wakati mu kuteesa ku bbago.
Ate yye omumyuka wa ssabawolereza nga ye munnamateeka wa gavumenti mu musango guno Mwesigwa Rukuntana omulundi ogwokubiri, asabye nti omusango guno gugobwe, obutasuula kusalalwo kwabantu.
Rukuntana agambye nti okujjawo ekomo ku myaka kwali kusalaow kwabantu, okwakolebwa okuyita mu babaka baabwe.
Agambye nti ababaka ssi babakakyokka, wabula balina nobuyinza okusalaow kulwabantu baabwe.
Omusango uno gukyagenda mu maaso.
Mu biralala, omu ku banamateeka babawaaba asabye nti abantu be baliyirirwe gavumenti.
Bwabadde akubira ensonga ze Ladislous Rwakafuzi agambye nti kir mu mateeka, abantu baubilijjo abamala obudde ne ssente mu kukuuma nokukwasisa ssemateeka okuliyirirwa.
Ono asabye abalamu 5 aba kooti ya ssemateeka kino itunulwemu.
Ategezeza nti abantu babulijjo abawaaba okuyita mu babaka baabwe nabantu ssekinoomu bataddemu ensimbi nnyingi mu musango guno.
