Skip to content Skip to footer

Ssabapoliisi aweze okukwatanga abantu

Bya Kyeyune Moses

Ssabapoliisi we gwanga Martin Okoth aweze okukwatanga abateberezebwa okubeera abamenyi bamateeka munda mu kizimbe kya palamenti neku kooti.

Ochola obweyamu buno abukoledde mu kakiiko ka palamenti akebyokwerinda nensonga zomunda mu gwanga gyatereddwa ku nninga okunyonyola ku bikolwa ebyokukwatanga abantu, oluusi nababeera bakaweebwa okweyimirirwa.

Okwemulugunya kuno kuleteddwa omubaka wa Kawempe South Mubarack Munyagwa ngono abadde yebuuza kungeri Dr Ismail Kalule gyeyakwatibwamu munda mu kizmbe kya kooti nga yakaweebwa okweyimirirwa.

Mu kwanukula Ochola ategezeza abababka nti ensonga eno naye yajewuunya era yalagidde Grace Akullo akulira ekitongole kya CIID, kino obutaddamu kubaawo.

Leave a comment

0.0/5