Skip to content Skip to footer

Munnamwulire eyakubwa atubidde- Poliisi tennaba kusasula

Journalist beaten up

Munnamawulire eyakubibwa owa poliisi n’amutuusako obuvune  akyakonkomaliridde mu ddwaliro e Nsambya.

Kino kivudde ku poliisi okulememerwa okusasula ebisale by’eddwaliro gy’amaze akabanga ng’ajanjabibwa.

Andrew Lwanga asiibuddwa okuva mu ddwaliro lino enkya ya leero naye nga tebamuta  kubanga bamubanja akakadde kamu n’emitwalo abiri ezirina okusasulwa poliisi.

Tugezezzaako okukuba essimu y’ayogerera poliisi mu ggwanga okubaako nekyayogera ku nsonga eno naye nga tagikwata.

Lwanga yakubwa aduumira poliisi ya  Old Kampala Joram Mwesigye bweyali akwata amawulire g’abavubuka abaali bekalakaasa olw’ebbula ly’emirimu wano mu ggwanga.

Leave a comment

0.0/5