Olwali
Ono anywa musulo
Abantu bakozesa ebintu bya njawulo okwekuuma nga balamu
Omukyala ow’emyaka 63 akimazeeko abantu bw’ategeezeza nga yye bw’akozesa omusulo okwekuuma nga mulamu.
Omukyala ono Suylivia Chandler agamba nti buli ku makya omusulo gwe taguyiwa agunyw abunywi era nga kino akikoledde emyaka 20 amabega
Omukyala ono agamba nti amaze emyaka egisoba mu kkumi nga talwala olw’omusulo guno ogumukuuma nga mulamu
Agambye nti okunyw aomusulo gwe tagusangamu buzibu kubanga gumuwoomera n’okukira amazzi