Ebyobusuubuzi
Ssabaminisita anyonyodde ekivudeko okulinya kwa seminti mu uganda.
Bya Samuel Ssebuliba.
Ssabaminister we gwanga lyatu Uganda Dr Ruhakana Rugunda ategeezeza nga ebeeyi ya seminti okulinya bwekivudde ku bantu abagula seminti okweyongera okulinya buli kadde.
Bino bigidde mu kaseera nga abantu abagula cement mu Uganda bakaaba olw’ebeeyi eyewanise nga mu kaseera kano ensawo eyali egula emitwalo 30,000 kati etuuse ku mitwalo 50,000
Bwabadde ayanukula ebibuuzo by’ababaka mu palamenti leero, Rugunda agambye nti cement wa Uganda ali kukatele ebitagambika olw’omutindo, kale nga kino kireese amawanga amalala okudukira mu Uganda, songa nebanayuganda kakano bazimba ebitagambika.
Wabula ono asuubizza nti minisuta w’ebyobusubuzi ayogeragenya n’abakola cement ono okulaba nga bongera kubungi bwebafulumya.