Ebyobulamu
Govumenti tenasalawo ku ky’okuleeta abasawo okuva mu Cuba.
Bya Ndaye Moses.
Ministry ekola ku by’obulamu etegeezeza nga bwetanakola kusalawo okw’onkomeredde ku kyokuleeta abasawo okuva mu Cuba bajje bakole mu uganda.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire, Dr. Diana Atwine nga ono ye muwandiisi ow’enkalakalira mu ministry eno agambye nti government mu kaseera kano ekyakubaganya ebirwozo ku kiteeso kino, kale nga akadde konna okusalawo kwakukolebwa era banansi baakumanyisibwe.
Ono agamba nti government okusalawo bweti kyadirira abasawo abakyasoma okutegeza nga bwebatalina bakugu ababalaga eky’okukola, kale government kwekulowooza ku ky’okuleeta abakugu okuva mu cuba bayambe abaana bano
Ono agamba nti singa government enaasalawo okuleeta abasawo bano, bagenda kuteekebwa mu malwaliro 36 ewali abaana bano abakyayiga, batandike okubatendeka, sosi kujanjaba bantu nga bwebibadde ebigambibwa.