Bya BEN Jumbe.
Olunaku olwaleero ssabaminisita we gwanga lya Ethiopia Dr. Abiy Ahmed Ali atuuka mu gwanga , nga muno wakumalamu enaku biri kubugenyi obwenjawulo.
Twogedeko naakola ku by’amawulire ebya president Don Wanyama , nagamba nti omukulu ono atuuka wano kumakya, era nga wakwanirizibwa minisita akola ku nsonga z’amawanga amalala Henry Okello Oryem.
Ono ategeezeza nti okuva ku kisaawe entebe , omukulu wakwalibwa buterevu mumaka g’obwa pulezidenti ye nekamukyaza bawayeemu okumala akabanga ,bwebanaamala boogereko ne banamawulire ku nsonga ez’enjawulo
Ono mungeri yeemu era agenda kubaawo nga uganda ekuza olunaku lwabazira, era nga nate wakuweebwa omudaali ogukyasinze okubera obwekitiibwa, nga guno gwegwa Pearl of Africa grand master medal.
Gino emikolo gigenda kubeera kakumiro