Bya Shamim Nateebwa
Omwana owemyaka 2 nekitundu afiridde mu luzzi.
Rahim Turyabwe mutabani wa sayid Ali abatuuze be Kajjansi yagudde mu luzzi nafa, oluvanyuma lwokugenad okuzanya ne muto munne kitaawe bwabadde amulesse awaka ngagenze okukola.
Mu kwogerako ne Taata womwana ono gwetusanze ku gwanika atugambye nti abadde nomwana ono omwaka mulamba era nga nyina yamusulawo kyokka abadde amulekeera bapangisa banne.