Bya Benjamin Jumbe
Omulabirizi we Namirembe Kitaffe mu Katonda, Wilberforce Kityo Luwalira asabye abakulistaayo, okwoleka okwagala kwa Katonda eri egwanga ate nokwekubirizanga buli kadde.
Buno bwebubadde obubaka bwe mu kusaba kwa sekukulu, nagokoddeyo ebigenda mu maaso mu gwanga, ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga bwejajiddwa mu ssemateeka.
Agamba mu mbeera eno, enjuuyi zonna gavumenti nabajivuganya, balina okukulembeza Katonda.
Agamba bino byamukubye wala, kubanga ensonga eno ssi yenkulu ennyo mu gwanga, songa waliwo ebiralala ebyandibadde bitesebwako.
Agamba obudde bungi obwatwaliddwa mu kuteesa ku nnongosereza za ssemateeka.