Abantu abasoba mu 50 bafudde oluvanyuma lw’ettaka okubumbulukuka nelibaziika mu ssaza lye Antioquia mu ggwanga lya Colombia.
Omukulembeze w’eggwanga lino Juan Manuel Santos ategezezza nga ab’obuyinza bwebatamanyi bantu bameka bakyabutikiddwa naye nga batya nti abawerako baakiziddwa.
Enkuba eyatonye nga tesalako y’aviiriddeko omugga Liboriana okubooga amazzi negeera ettaka eryabumbulukuse neribikka abawerako.
Abaddukirize batuuse dda nga era banji basima mu bifunfugu okutaasa bakawonawo.