Bya Ivan Ssenabulya
Abalwanirizi be ddembe lyobuntu basabye essiga eddamuzi ne gavumenti okukakasa nti abantu emisango gyebwe jiwozesebwa mu bbanga eryomwaka gumu.
Bwabadde ayogerera mu kukubaganya ebirowoozo ku ddembe lyobuntu mu Kampala munamateeka Ladislaous Rwakafuuzi agambye nti kino kigwana okukolebwa kubanga ddembe lyabuntu okuzesebwa mu budde.
Ono avumiridde ekiragiro kyomukulembeze we gwanga eri poliisi nabalamuzi okukomya okuwa abali ku misango egya naggomola ngobutemu okweyimirirrwa.
Rwakafuuzi agambye nti kino tekisoboka kubanga abantu batwala nemyaka 5 nga bali ku alimanda tebanalamulwa, nasaba omukulembeze we gwanga agamba nti alwanirira enfuga eyamateeka okumenyawo ebigambo bye.
Gyebuvuddeko bweyali ayogerako eri palamenti oluvanyuma wlokusoma embalirira ye gwanga presidenti Museveni yagamba nti okuyimbula, abateberezebwa obutemu baworeze ebweru kukome.