Ebyobulamu
Amasomero gonna gakukolanga duyiro ku buwaze.
Bya Shamim Nateebwa .
Government etegeeze nga okukola duyiro bwekugenda okufuuka okw’obuwaze eri buli somero mu uganda , nga otwalidemu n’amasomero ag’obwananyini.
Bwabadde alangirira olunaku olw’okukola duyiro wano e Entebbe minister akola ku by’obulamu Dr. Jane Ruth Acenge agambye nti mukaseera kano bakolagana ne ministry ekola ku by’enjigiriza obutaddamu kuwa licence eri amasomero agatalina bisaawe.
Ono agamba nti obutakola duyiro y’ensibuko y’ebirwadde ebitatambulira mu mpewo gamba nga pulesa.
Kinajukirwa nti cabinet yakirizadda nti okutandika nga 8th omwezi ogujja, egwanga lyakukolanga duyiro,era nga omukulembeze we gwanga wakubaayo wano e kololo nga entekateeka eno etongozebwa.