Bya Magembe Sabiiti.
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Katugo mu gombolola ye Nalutuntu e Mubende abattemu bwebayingiride mutuuze munabwe nebamutema ebiso ku ebimusse.
Atiddwa ye Kayiira Robert ow’emyaka 30 nga ono abadde makanika mu katawuni ke kakungube e Mubende era nga police omulambo egujjewo ne gutwalibwa mu dwaliro lya Kiganda health center 1V okwekebejebwa.
Omwogezi wa police atwala Wamala Region Ochom Nobert ategezezza nga bwebaliko abantu 2 bebakute ku ttemu lino nga n’okunonyereza bwekugenda maaso.