Skip to content Skip to footer

Ssalessale wa Mande ng’abaana bajiddwa ku nguudo

Bya Tom Angurin

Minister owabavubuka nabaana Owek Florence Nakiwala Kiyingi alangiridde salessale ku Bbalaza nga 2nd July abaana boku nguudo bonna banaaba bajiddwako mu Kampala.

Ono atubuliidde nti bakwatagenye ne poliisi nekitongole kya KCCA okutekesa kino mu nkola.

Abaana bakukwatibw abatwalibwe mu maka webayinza okulabirirwa ate nabamu okubazaayo gyebava, nokutangira abalala okuyingira mu kibuga.

Abo abanasangibwa ku nguudo bakuvunanwa mu kooti, kubanga abamu agamba benyigira mu kubba mu kalipagano kebidduka nabamu okukubammotoka zabantu oabaokuwandulir bebasaba ssente nebatabawa, nga bayize emizze egitagambika.

Mungeri yeemu gavumenti egamba yakukeberanga bus eziva mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo okuyingira Kampala, okukugira abaana bano okwongera okujja mu kibuga.

Leave a comment

0.0/5