Ebyobusuubuzi
Abalimi batandise okukaaba olw’omusolo gwa Mobile money.
Bya Damali Mukhaye.
Abalimi n’abalunzi mu gwanga bategeezeza nga omusolo ku nkola eya mobile money bwegugenda okubakosa ekisusse, ga kw’ogasse ne nusu 200 ezatekeddwa ku mikutu mutaba bantu kiyite social media.
Bwabadde ayogereko ne banamawulire wano e wandegeya, president wa Uganda veterinary association Sylvia Baluka , agambye nti abasinga kubalimi bali mubyalo ewatatuukika, kale nga bano babade bafunira ensimbi zaabwe ku mobile money era nga kibadde kibazaamu amaanyi agalima n’okulunda.
Ono mungeri yeemu agamba nti mobile money babade bagifudde banka nga buli kasimbi bakateeka okwo, kale nga bino ebyaleteddwa bigenda kubajja kumulamwa, bangi nokulima bayinza okukudukako.
Kati bano basabye government okwanguwa okutuula edemu yetegereze ensonga zino kubanga tezigenda kugassa munnayuganda .