Bya Damali Mukhaye .
Banyini miku gya TV ne Radio balaze okutya olw’amawulire ag’obulimba agagenda geyongera okusasanyizibwa, nga gano gatuuse n’okukosa emikutu gy’amawulire egimanyiddwa.
Bwabadde ayigerera mu tabamiruka wabanyini mikutu gino, akulira ekibiina ekibataba ekya National broadcaster association Kin Kariisa agambye nti omuze guno gwatandikadda mu mirembe gya ssematalo, wabula nga tegukosezza banamawulire bokka, wabula ne government yenyini
Ono ategeezeza nti luno olutalo sirwangu , kale nga government erina okukwatana nemikutu egimanyiddwa okulaba nga balwanyisa kino