Skip to content Skip to footer

AMISOM erabudwa ku ky’okwanguwa okuva mu Somalia.

Bya samuel ssebuliba.

Minister wa Bungereza akola ku by’okwerinda Rt. Hon. Gavin Williamson alabudde omukago gwa Africa obutapapa kujja majje ga Amisom mu Somalia, kubanga kino kigenda kuzza obutali butebenkevu mu gwanga.

Bwabadde akyadeko mu gwanga lino olunaku olw’eggulo,minister ono yagambye nti bbo baagala Amisom okuva mu Somalia nga emirembe gimazze okudda, kubanga Somalia ne East Africa yonna yakuddamu okudobonkana.

Wabula ono yeeyamye nga Bungereza bwegenda okusigala nga ewagira eby’okwerinda bye gwanga lino.

Leave a comment

0.0/5