Bya Ivan ssenabulya.
E mukono office ya president eriko ensimbi obukadde 1200 bwewadde district ye Mukono okudaabiriza edwaliro elya Mukono Health Centre 4.
Zino ensimbi omukulembeze we gwanga yeyazeeyama bweyali akyadeko mu kitundu kino mu mwaka 2015.
Kati olunaku lweggulo olwafunye ensimbi zino mayor wa Mukono George Fred Kagimu n’atema evuunike, kale nga okuzimba kwakutandika akadde konna.
Twogedeko nakulira edwaliro lino Dr. Godfrey Kasirye naagamba nti ekizimbe kino ekigenda okuba ekya kalina kyakubaako bu clinic obuwerako , kiyambe okutereeze mu mpereza ye dwaliro lino.