Amawulire
Aba Pakistani babawenja
Poliisi eyisizza ekiragiro ki bakuntumye eri abasajja enzaalwa ze Pakistan abasobya ku muwala ekirindi
Zaheer Mohammed ne Sadiq Muhammed badduka oluvanyuma lw’okusobya ku muwala ow’emyaka 23 ekirindi ne badduka
Ekiwandiiko ekissiddwaako omukono gwa senkaggale wa poliisi gen Kale Kaihura kyooleka nga bano bwebetaagibwa ku misango gy’okukaka omuwala omukwano n’okumukabasanya mu ngeri ekontana n’ennono.
Kaihura era asabye omuntu yenna amanyi bano gyebali okutegeeza poliisi.