Ebyobulamu

Gavumenti yetegekedde obulwadde obwakutte abalamazi

Ali Mivule

October 21st, 2013

No comments

MERS

Emmeeza ey’enjawulo essiddwawo ku kisaawe Entebbe okukebera abantu abava emitala w’amayanja

Mu bano kwekuli abalamazi okuva mu ggwanga lya Saud Arabia .

Kiddiridde ekirwadde ekikosa okussa kw’omuntu ekimanyiddwa nga MERS okulumba abalamazi ng’abasoba mu 51 beebakoseddwa

Omukungu mu ministry y’ebyobulamu ng’akulira ekitongole ekinonyereza ku ndwadde ezigwaawo, Dr Isa Makumbi agamba nti abantu bonna abanakomawo bakukeberwa,abanasangibwa nga  balwadde baweebwe eddagala.

Obulwadde buno bujja n’ekifuba ng’omuntu tasobola kussa bulungi, omusujja n’okunafuwa omubiri