Bya Ivan Ssenabulya
Omumyuka wa ssentebe wa district ye Wakiso Betty Naluyima ayamblidde abakulembeze bagamba nti bewangamya mu ntebe.
Agamba nti embeera eno yevuddeko abantu okwekyawa nebatandika nokutta banaabwe, mungeri eyettima.
Ono okwogera bino abadde ku mukolo ssentebe we kyalo Kirandaazi mu Bweyogerere Central Division Baker Obaka bwabadde yebaza, abalonzi abaamuwa obululu.
Asabye ssentebbe ono ekiseera bwekiba kituuse alekereko nabalala.