Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka wa gavumenti mu district ye Mukono Nasser Munulo aliko ba blocker be ttaka 2 bagalidde, nga kigambibwa nti babadde benyigira mu kufera abantu kubye ttaka.
Joseph Musanya ne Shebe Umar, abatuuze ku kyalo Nabuuti mu Mukono Central Division kigambibwa nti baafera Twikirize Medard nebamuguza ettaka nazimbako
ennyumba, ate oluvanyuma nebamuwendulira abantu nebakoona ennyumba ye.
RDC agambye nti azze afuna okwemulugunya okuva mu batuuze, ku ba bulooka bano.