
Omuvubuka ow’emyaka 20 asingisiddwa omusango gw’obuliisa manyi.
Henry Muduuku alabiseeko mu maaso g’omulamuzi omukulu ku kkooti ento ey’okuluguudo lwa Buganda Flavia Nabakooza era teyegaanye musango.
Omulamuzi amusindiise ku meere e Luzira Okutuusa nga October 7th 2015 lw’anamusalira nga amaze okuwulira gwebatusaako obuliisa manyi atabadde mu kkooti .
Muduuku omusango yaguza nga July 19th 2015 e Lungujja mu divizoni ye Lubaga mu Kampala.
Muduuku yakwatibwa police ye Lungujja era omwana owe emyaka 17 bweyakereberwa abasawo kyazulibwa nti yali yetabye mu bikolwa eby’obukaba.