
Omugoba wa Boda Boda ku siteegi ye masanafu apookya na biwundu ababbi abeefudde abasabaaze byebamutusizzaako nga tebanabulawo na boda ye.
Erias Kasango ow’emyaka 26 apangisiddwa omusabaaze okumutwala e Nansana wabula awo weyakomye okutegeera.
Ono asangiddwa ng’afumitiddwa emisumaali mu matu era nga tajjukira byamutuseeko.
Kasango tanaba kufuna bantu be olw’ensonga nti namba ya ssimu yonna gy’ajjukira.