Skip to content Skip to footer

Yesaze lwa musajja

File Photo: Akambe nga kaliko omusaayi
File Photo: Akambe nga kaliko omusaayi

Omukyala yesazesaze oluvanyuma lw’okufuna obutakkanya ne muganzi we gw’alinamu abaana 3.

Amina Nakiryowa owe Mutungo Biina yasazeewo okwesala omubiri gwonna nga mw’otwalidde emisuwa ekimuviriddeko okuvaamu omusaayi omungi.

Nga twogerako n’ab’oluganda be abatagadde kwatuukirizibwa mannya bategezezza nga bano bwebafunye obutakkanya olunaku lwajjo ne mwami we omwami Solomon Kalema omutunzi w’ebyenyanja mu owino ‘nasibamu ebibye wabula kino kyagye Nakiryowa mu mbeera n’atandiika okwekola obusolosolo ekyamuviriddeko okwesalasala ng’alajaana nga bw’atalina bw’agenda kubeerawo na baana nga talina mulimu.

Ono aweereddwa ekitanda ku ddwaliro e Mulago.

Leave a comment

0.0/5