
Abasomesa e Mukono bakaawu oluvanyuma lwempeera yaabwe kati emyezi essatu zebatanafuna.
Abasomesa ababadde bakulembeddwamu ssentebbe wa UNATU Nabungu Josephin abatagadde kwatukiriza mannya gaabwe bavuddemu mu masomero ga gavumenti agenjawulo. Waliwo abategezezza nti bbo babanja emyeze gisoba mu essatu kati 5 nga tebafuna ku ddente.
Abasomesa basinzidde ku mikolo gyabwe mu Kisister e Nagalama okuwogera bino. Bagambye District yabadde ebagaanye nokwetaba ku mikolo gino egyategekeddwa banakyewa.
Bbo aba District tebetabye ku mikolo gino newankubadde kitegezeddwa nti CAO George Ntulume nakulira ebyenjigiriza Bbalaza Vincent saako nabakaulu abalala babadde bayitiddwa.