Bya Ssamuel Ssebuliba.
Gyebuvudeko nga 22 August omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni yawandiika ebaluwa n’agiteeka ku mukutu gwa Facebook nga ayogera ku bula ly’emirimo, era nga agamba nti kino ky’ekikyali ekizibu kya Uganda ekinene.
Bino byeyawandiika bikwanaganira dala n’ebyazuulwa mukunonyereza okwakolebwa aba Twaweza era ku nsonga yeemu.
Mukunonyereza kuno kyazuuka nti ebula ly’emirimo kyekimu kubizibu ebisatu ebitawaanya Uganda, era nga bannayuganda ebitundu 78% bakiriza nti government eky’okutondawo emirimo kigirimye.
Wabula mu baluwa eno President yye agamba nti akoze kinene okutondawo emirimo, kko n’okukyusa ku mbeera z’abantu newankubadde bannayuganda kino balinga abatakiraba.