Skip to content Skip to footer

Kawolo wakujibwako engalo omwaka ogujja

Bya Shamim Nateebwa

Omulimu gwokudabiriza eddwaliro lye Kawolo gwakujibwako engalo mu February womwaka ogujja.

Kampuni ya Excel Construction Company Ltd yeyaweebwa omulimu guno, nga gwawemense obuwumbi 39 okuli nokuguliramu ebyuma ebyomulembe.

Gwatandika omwaka oguwedde nebaweebwa emyezi 18 okuba nga bamaze.

Okusinziira ku minister webyobulamu Jane Ruth Aceng agambye nti kuno bagenda kuzimbako waadi yabasanyaladde,  egwanika eryomulembe, amayumba ga mirundi 4 ne sweeta 2.

Ategezeza nti olwokuba eddwaliro lye Kawolo liri ku mwasanjala we Jinja-Kampala litera okufuna abalwadde bobubenje, wabula balina ambulance 1, tebalina gwanika nga ne fridge yafa kati emyaka giyiseewo mingi.

Byonna agambye nti byakukolebwako.

Leave a comment

0.0/5