Skip to content Skip to footer

Abayingira e Mulago bakusokanga kunaaba

Bya Shamim Nateebwa

Abalwadde abanagenda mu ddwaliro lyabakyala, eryaguddwawo e Mulago, bakusokanga kunaaba ate babawe nengoye endala nga tebanayingira mu ddwaliro lino.

Abakulu bagamba nti kino kigendereddwamu kukendeeza ku birwadde, ate ebiva e bweru okuyingiranga muddwaliro.

Kati bakunabanga engalo nebigere, nokubekebejja obulungi, balyoke babayingize.

Kino kibotoddwa akulira eddwaliro lye Mulago Dr Baterana Byarugaba, ngeddwaliro lino lyakajja limalirizibwe okudabirizibwa.

Ono era abasabye abasawo, nabalabirira eddwaliro okukuma obuyonjo.

Eddwaliro lino, ettabi lyabakyala eryogerwako lyamazeewo obukadde bwa dollar 47 nga lyakujanjabanga abakyala ebirwadde ebyekuusa ku mbuto, okutonya nebiralala ebizoganya abakyala.

Leave a comment

0.0/5