Bya Moses Ndaye
Poliisi etegezezza nti etandise okunonyereza ku kibinja kyabagoba ba boda-boda abatandise okulumbagana banaabwe, abegattira mu kampuni ezitali zimu nga, safe boda, taxfy nebiralala.
Bino byalabwako, ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, wano mu Kampala aba boda-boda abamu bwebalumba banaabwe, okubakuba nga baalumiriza okubamalako abasabaze, nga bemulugunya bti bbo tebakyakola ssente.
Wabula atwala poliisi yebidduka mu gwanga Dr. Steven Kasima agambye nti batendise okunonyereza ku ndoliito zino.
Wabula agambye nti bbo baakuwagira aba boda-boda abategekeddwa obuylungi era abalima, kampuni nga zino mwebegattira.