Olukiiko lwabaminisita ba gavumenti bataddewo akakiiko akagenda okwekenenya ekizibu kya zaala , okukozesa ebiragalalagala wamu n’ebikolwa eby’obwenzi ebiwanise amatanga mu ggwanga.
Akakiiko kano ak’abantu 8 kaakukulemberwamu minisita w’empisa n’obuntu bulamu Father Simon Lokodo nga era kasuubirwa okuleeta ebiteeso ku mateeka agasaana okulwanyisa obwononefu wamu n’okulaba nga abavubuka betaba mu mirimu egibagasa bave mu byongera okubaziika.
Minisita w’ebyamawulire Jim Muhwezi agamba nti yadde nga Uganda erina amateeka ag’enjawulo ku zaala, agasinga gakwata ku byakugabira kampuni za zaala layisinsi na musolo awatali kutunulira kabi koolekedde bannayuganda naddala abavubuka.
Mu kiseera kino kampuni za zaala 65 zaweebwa layisinsi okukola emirimu gyazo wabula nga banji abatambuza zaala mu bumenyi bw’amateeka .