Omulamuzi wa kkooti ye Mukono MacKay Opoloti asindise omusomesa w’enyimba ku ssomero lya Triple P P/S, ku alimanda lwakusobya ku muyizi owa P5 n’amusiiga ne siriimu.

Kigambibwa okuba nti Travis Sekiliba yasobya ku kawala kano ak’emyaka 13 enfunda eziwera nga era yali omuwala y’amuwa ssente asirike.
Omuwala ategezezza nga omusomesa ono bweyamutolosaanga ku ssomero n’amutwala ewuwe e Kawuga olwo n’amumalirako ejjakirizi.
Omwana olwamukebedde mu ddwaliro ddala kyazuliddwa nti yasiiga omwana ono siriimu.