Abaana abali eyo mu bukadde 7 abali wansi w’emyaka 5 bebasubirwa okugemebwa ekirwadde kya Polio.
okugema kuno okwennaku 3 kutandika lwakutaano luno kukomekerezebwe ku ssande nga era awamu kwakuwementa obuwumbi 15.
Akulira obujanjabi obwabulijjo mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Jane Achieng ,agamba kino kigendereddwamu kutaasa baana bakuno naddala nga abanonyi b’obubudamu okuva mu ggwanga lya South Sudan beyongera okweyiwa mu ggwanga.