Skip to content Skip to footer

Abayisiraamu ba Mbabazi

File Photo: Kaihura nga
File Photo: Kaihura nga

Ekibinja ky’abayisiramu  ekya Youths Development Platform  kirangiridde nga bwekigenda okuwagira eyali ssabaminisita Amama Mbabazi ku bwa pulezidenti.

Ekibinja kino kigamba gavumenti eriko tefudde ku bizibu biluma basiraamu mu ggwanga kale kabagezeeko Mbabazi.

Akulira ekibiina kino  Ahmed Kabuye  agamba benyamivu olwagavumenti obutalondebwa mu bifo byamaanyi kale nga bebamu ku basinga okukuba emisota ku byalo.

Abaddu ba Allah era banokoddeyo n’ettemu erizze likolebwa ku bakulembeze b’abayisiraamu okwetolola eggwanga wabula nga mpaawo kikoleddwa kukwata bali mabega wakino.

Kabuye agamaba bakuteeka emikono ku ndagaano n’aba Mbabazi okulaba nti bw\alya obuyinza abayisiraamu abalowozako mungeri eyenjawulo.

Leave a comment

0.0/5