Skip to content Skip to footer

Gavumenti buli muyizi wa pulayimale emuwa silingi 4 az’amazzi buli taamu

 

abaana n'amazziKizuliddwa nti gavumenti ewa buli muyizi wa pulayimale siringi 4 buli taamu ez’amazzi.

 

Bino byazuliddwa mu kunonyereza okwakoleddwa ab’ekitongole kya Water Aid Uganda nga bali wamu n’abekitongole Kampala Capital City Authority.

Kati nga ayogerako nebannamawulire wano mu Kampala, akulira ebyamazzi n’obuyonjo mu kitongole kino Jacinta Nangabo ategezezza nga okunonyereza bwekwakoleddwa ku masomero mu Kampala n’emiriraano.

 

Wabula agamba ensimbi zin onto nyo nga zetaaga okwongezebwa okutuuka wakiri ku 1500 buli muyizi.

 

Agamba olw’ensimbi entono ezitekebwa mu mazzi, abaana kyangu okufuna endwadde eziva ku bukyafu ekiviirako bangi okwoosa.

 

Leave a comment

0.0/5