Bya Gertrude Mutyaba
Omubaka wa gavumenti e Sembabule Henry Baguma alagidde akulira abakozi mu district eno Willy Batalingaya okuyimiriza mbagirawo okusasula yinginiya wa district olwakubulankanya obukadde 63 gavumenti zeyabawa okuzimba dam z’amazzi.
RDC Baguma agamba nti engineer Dennis Ssekitooleko yadduka dda neyeekweka kati omwezi mulamba oluvannyuma lw’okumuteeka ku nninga aleete ensimbi ezaali ezokutuusa amazzi amayonjo ku byalo Kinyansi, Kigonya ne Kikoma ebisangibwa mu gombolola ye Mijwala mu district ye Sembabule.
Kigambibwa nti ensimbi zino zaawebwa engineer mu mwaka gw’ebyensimbi 2015/16 kyokka ye naazisirikira.