Bya Ruth Anderah
Abasirikale ba poliisi 6 banokoddwayo mu mivuyo gye ttaka.
Bano kuliko akulira poliisi nomuntu wabulijjo Asan Kasingye, akulira ebikwekweto Asuman Mugyenyi, eyali DPC we Kanoni Oyese John, comisona wa poliisi yebye ttaka e Kibuli Nandini Christine, nga kigambibwa nti bagobaganya abantu 1000 mu bumenyi bwamateeka okuva ku ttaka erya yooka 980 erisangibwa ku kyalo Ddegeya mu gombolola ye Maddu mu district ye Gomba.
Bino bwebumu ku bujulizi obuwererddwa ssentebbe wa Kiboga Twegatte Cooperative Soceity Julius Turyamureeba bwabadde alabiseeko mu kakaiiko komulamuzi Catherine Bamugemereire, akanonyererza ku ivuyo gye ttaka mu gwanga.
Turyamureeba agambye nti yye nabantu abalala 2500 bagobebwa ku ttaka lyekibira kye Luwunga Forest Reserve e Kiboga mu mwaka gwa 2009 wabula gavumenti nebaliyiriramu ettaka e Gomba.
Wabula ate eno RDC we Gomba Nayebare Fred yabataegeeza nti ettaka lino lyali lyamunansi wa Rwanda Gahiigi Joseph.
Wano wewatandikira enkayana era bamalirizza bababsindikirzza, naluti ngekikere wabula okwabwe.
Wabula Afande Asan Kasingye bwabadde ayogerako naba NTV akakwungeezi akayise, ebimowgerwako ngomuntu abyegaanye.