Ebyobulamu
Eby’omukyala eyafiiridde mu ssanya biranze
Gavumenti esabiddwa okwongera emisinde mu kawefube w’okuddabiriza amalwaliro ga gavumenti okwetoloola eggwanga okukendeeza ku muwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya.
Omubaka we Bukhooli mu bukiikakkono, Baka Mugabi agamba nti gavumenti erudde ng’eyimba nga bw’eganda okuddabiriza amalwaliro kati emyaka esatu nga tewali kikolebwa.
Ono agamba nti abakyala n’abaana beebasinze okukosebwa mu kino nga keekadde ministitule esitukiremu okuddabiriza amalwaliro
Bbo ababaka ba palamenti abamu bagaala gavumenti eveeyo n’enkola ng’abasawo mu malwaliro ga gavumenti tebakkirizibwa kuddukanya bulwaliro bwa bwa nnanyini.
Omubaka we Kyotera, Haruna Kyeyune agamba nti abasawo bangi basindika abalwadde mu bulwaliro bwaabwe naye nga bakimanyi nti tebalina busobozi bukola ku bantu abo
Bino biddiridde okufa kw’omukyala ayafiiridde mu ssanya oluvanyuma lw’omusawo okumupakula mmu ddwaliro lya gavumenti nga talina ssente n’amuzza mu lirye ng’eno gyeyafiiridde