Bya Ruth Anderah
Kooti ensukulumu etaddewo olwanga 7th November 2018 nga lwebagenda okutula okukanya ku binagobererwa mu musango oguwakanya ennamula ya kooti eya ssemateeka eyakiriza okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze w e gwanga.
Okusinziira ku kiwandiiko ekitereddwako omukono gwomuwandiisi wa kooti Godfrey Opefeni, banamateeka aba Lukwago and company advocates , Rwakafuuzi and company advocates, Uganda Law sociey ne Ssabawoererza wa gavumenti bakutuula okukanya.
Ekiwandiiko kino era kiwerezeddwako Hassan Male Mabirizi naye awakanya ennamula yeemu.
Abantu 4 bebawakanya enamula ya kooti ya ssemateeka gyeyawa mu July 2018 e Mbale, abalamuzi mwebawagirira kyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga 75 gyalian okukomako okufuga atenga ekya babaka okweyongeza emyaka ku kisanja bakigoba.