Bya Damalie Mukhaye
Lord mayor wa Kampala Elias Lukwago agambye nti emitendera gyemablirira yekitongole kya KCCA, gyandiba nga gyaguddemu omukoosi oluvanyuma lwokulekulira kwa Nakulu wekibuga Jenipher Musisi.
Jenniefa Musisi yawandikidde Mukama we president Museveni ebbaluwa, namutegeeza nti agenda kulekulira nga 15th December.
Bwabadde ayogerera mu lutuula lwa council amakya ga leero, Lukwago agambye nti kati baakusisnkana abebyekikugu wiiki ejja okutandika ku ntekateeka yokuyisa embalirira yaabwe eyomwaka gwebyensimbi ogujja 2019/20.
Alaze okutya nti balina ssale ssale mu ministry yebyensimbi, wabulang kati bakyali mu migozobano gyabutabaawo Executive Director wa ssimba.