Bya Ndaye Moses.
Compuni n’ebitongole ebinene mu gwanga bisabiddwa okwetaba mukukuuma obutonde bwensi nga byetaba mukusimba emiti buli wekyetagisa.
Kuno okusaba kukoledddwa akulira company ya Harris International Mahdi Msheimesh nga bano bebakola soda wa Riham ne Biscuit.
Kati bano leero beetabya mukusimba emiti egy’ebibala egisoba mu 1000, era nga gino bagigabidde amasomero agenjawulo.
Ono agambye nti ekibakozesezza kino kwekuteeka mu baana bano omutima ogwagala obutonde bwensi.
Emiti gino gisimbiddwa ku masomero ag’enjawulo okubadde Naluvule primary school, St Catherine primary school, Kasaala primary school kko namalala.