Skip to content Skip to footer

Omusamize akwatiddwa nomuyambi we lwakusobya ku mutunzi we mmere

Bya Sam Ssebuliba

Police e buwama eriko omusawo ow’ekinansi gw’ekuttewamu n’omuyambiwe, nga bano ebalanze kudda kumukyala ow’emyaka 21 nebamusobyako.

Akwatidwa ye Kakeeto Mike omusawo w’ekinnansi wamu negwakola naye Lubega Robert omuyambiwe nga bano  abatuuze mu buwama mu town

Akulira okunonyereza kubuzzi bw’emisango e Buwama Josephat Mbonigaba agambye nti ono gwebasobezaako abadde awereza mere mu Buwama, kale nga okumufunza yabadde aggenza kukima masuwani gamere gyeyabadde abaguzizza.

Bano okukwatibwa baggidwa mu baala mu zone ya Lukadde mu town Ye Buwama

Leave a comment

0.0/5