Bya Damalie Mukhaye
Olukikiiko lwekibuga olwa Kampala Capital City Authority council lulagidde nankului wemirimu egeykikugu mu Kampala, obutagezaako okuteka ensimbi mu ntekateeka ya minista Betty kamya ayagala okutwala abakiise e Kyagwaza okutendekebwa mu nsonga ze nnongosereza mu ssemateeka.
Kamya yawandikira mukyala Jenniefa Musisi ngasaba obukadde 125 okuvvujjirira omusomo gwaba kansala 218 bebangenda okubangulira e Kyankwanzi.
Abakiise basazeewo nti tebajja kugenda mu musomo guno, kubanga kunaaba kwonoona nsimbi eyomuwi womusolo.
Yye lord mayor wa Kampala Erias Lukwago akubisizza aklulu, ng aba kansala 21 bebalayidde obutetaba mu musomo guno, 6 tebalina kyebogedde basirise busirise.
