Bya Sam Ssebuliba
Ministry yebyobulamu eyogedde ku kediimo kabasawo akakgenda mu maaso okwetoloola amalwaliro ga gavumenti mu gwanga, nebategeeza nti embeera tenayononeka wabula ebali mu taano.
Minister webyobulamu Dr Jane Ruth Acheng ategezeza banamwulire ku Media Centere akawungeezi kano nti ekibiina ekigatta abasawo ekya Uganda medical association ssi katala okukiberamu, kubanga waliwo nabasawo abalal abatali mu kediimo gamba ngabasawo abazalisa, abaswo bemitima, naba kokolo, nga bano era emirimu jikwajja.
Ategezeza nti tebatudde bakwataganaye nebibiina byabakozi, okubaako engeri gyebakaanya ngomwezi guno tegunagwako.
Wabula bino webijidde nga nabasawo abakyali mu kutendekebwa balabudde okwediima, gavumenti bwetakole ku nsonga ze nsako yaabwe.
Olwaleero akediimop kabasawo kagenze mu maaso mu lunnaku olwokubiri.