
Omulamuzi wa kkooti e Soroti aliko abakyala 2 b’asindise ku alimanda lwakufuuka ekisekererwa bwebeyambulamu engoye mu kwekalakaasa nga balumiriza yunivasite ya Soroti okubabbira ettaka.
Omulamuzi Baker Rwatoro y’asindise Maculate Ariokot ne Teddy Adeke ku alimanda okutuusa nga 21st July 2015 oluvanyuma lw’okwegaana emisango gino.
Abakyala bano balemereddwa okweyimirirwa olwabaliraanwa abazze okubeyimirira okuggya nga tebalina biwandiiko biboogerako.
Abamu ku batuuze balumiriza poliisi okukwatira banaabwe obwemage nga balwanirira byabwe sso nga ye omwogezi wa poliisi mu buvanjuba bwa Kyoga Juma Hassan Nyene, agamba bano bakwatiddwa olw’omusango gwebalina okwewozaako.