Bya samuel ssebuliba.
Abasawo abegatira mu kibiina kyabwe ekya uganda Uganda medical association bategeezeza nga bwebatalina kilowozo kyakuyimiriza kwekalakaasa kwabwe, newankubadde banaabwe abeeyita ababogerera aba Uganda medical workers union kyebagye bategeeza nga okwekalakaasa bwekukomye.
Twogedeko ne Dr Brian Kasagga nga ono yayogerera ekibiina kino n’agamba nti abagamba nti bebogerera abasawo banakigwanyizi, era tebafa ku mbeera zabasawo.
Ono agamba nti bbo omulamwa gukyali gw’akwekalakasa , kale nga tebagenda kukakkana okujjako nga ensonga zaabwe zikoledwako.