Bya Ssebuliba samuel
Waliwo akabenje akagudde ku luguudo olugatta Kampala ku Gulu ku kyalo Nakazzi e Luwero okumpi n’ekyuma ekipima obuzito bwemotoka okukakana nga omuntu omu afudde.
Kano akabenje kabademu e motoka biri okubadde Toyota Premio number UAK514U ne lukululana
Omugenzi ategerekeseeko lya Lt. Embogo , songa abalala abasatu abasimatuse akabenje badusiddwa mu dwaliro lyamagye e Bombo.
Twogedeko n’ayogerera Police ya Savannah Paul Kangave,n’agamba nti kano akabenje okugwaawo kidiridde akamotoka kano akatono okuyingira lukululana okukakana nga abanttu bafudde.