Bya Ruth Andera
Omukazi agambibbwa okuyiira muliranwa we amazzi agokya oluvanyuma lw’okumugaana okusulasula obubi bw’omwana we buli w’asanze avunaniddwa nasindikibwa ku alimanda e Luzira.
Nakalisa Mariam avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende omusango nagwegaana.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Jackie Kyasimire lugamba nti omukyala ono nga June 8th 2017 e Kamwokya zone one yayiira muliranwa we Nairumba Mary amazzi agokya, n’amwokya omukono gwe ogwa kkono gwonna wamu ne beere.
Kkooti ekitegedeko nti Nakalisa yayiira Nairumba amazzi oluvanyuma lw’omunenya ko okusuulasuula obubi bw’omwana buli wasanze.
Kati omusango guddamu okuwulirwa nga July 7th